World Missionary Press

Ekkubo Eridaeri Katonda - Luganda


©2001 by Rose Goodman. Cover art, Edwin B. Wallace. Meryl Esenwein, art above and on pages 10, 12, 14, 16, 27, 29, 39, 41, 42, 44, 46, 47, and 48. Text reprinted from the Bible in Luganda, 1968 Edition, by permission of the United Bible Societies Africa Regional Centre, Nairobi, Kenya.


KATONDA YAKOOLA ENSI YAFFE 1
N’EBINTU EBIRAMU BYONNA


“Olubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.”–Olubereberye 1:1

“Kubanga mu oyo ebintu byonna mwe byatonderwa, mu ggulu ne ku nsi.” –Abakkolosaayi 1:16a

“Mmwe muweereddwa Mukama omukisa, eyakola eggulu n’ensi. Eggulu lye ggulu lya Mukama; naye ensi yagiwa abaana b’abantu.” –Zabbuli 115:15, 16

Ensi yali etukiridde Katonda bweyagiwa omuntu. Soma akatabo kanno ozuure biki ebyabaawo.


KATONDA YATUTONDA 2

“Katonda n’ayogera nti ‘Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe; bafugenga...ku nsi.’”–Olubereberye 1:26

 


OMUNTU NAFUUKA EMMEEME ENAMU 3

“Mukama Katonda n’abumba omuntu n’enfuufu y’ensi, n’amufuuwamu mu nnyindo omukka ogw’obulamu; omuntu n’afuuka omukka omulamu [emmeeme]*.”–Olubereberye 2:7

“Mukama Katonda n’ayogera nti ‘Si kirungi omuntu okubeeranga yekka.’ Mukama Katonda n’aleetera omuntu otulo tungi, ne yeebaka; n’amuggyamu olubiriizi lumu, n’azzaawo ennyama mu kifo kyalwo. Mukama Katonda n’azimba olubiriizi, lw’aggye mu muntu, okuba omukazi, n’amuleeta eri omuntu.”–Olubereberye 2:18a, 21, 22

*Emmeeme enamu kiteegeza nti tujja kubeera awantu emirembe gyonna.


ADAMU NE KAAWA BAJEEMERA KATONDA 4, 5

Tetwandiwuliriza n’akatono ddobozi lya Sitaani.

“Mukama Katonda n’atwala omuntu, n’amuteeka mu lusuku Adeni alulimenga alukuumenga. Mukama Katonda n’alagira omuntu n’amugamba nti ‘Buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’onooyagalanga: naye omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi togulyangako: kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.’”
–Olubereberye 2:15-17

OMUSOTA ERA OGUYITIBWA OMUKEMI, OBA SITAANI GWAFUULA OBUYINZA BWA KATONDA NE GW’OGEERA OBULIMBA.

“Omusota ne gugamba omukazi nti ‘Okufa temulifa.’ Omukazi bwe yalaba ng’omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso, n’omuti nga gwa kwegombebwa okuleeta amagezi, n’anoga ku bibala byagwo n’alya.”–Olubereberye 3:4, 6


ADAMU NE KAAWA BALI TEBAKYAAYINZA KUBEERA MULUSUKU NATE 6

“Mukama Katonda kyeyava amuggya mu lusuku Adeni, alimenga ettaka mwe yaggibwa. N’azzaamu ebuvanjuba mu lusuku Adeni bakerubi, era n’ekitala...okukuumanga ekkubo ery’omuti ogw’obulamu.” –Olubereberye 3:23, 24b

 


KYALI KYANAKU NNYO ERI OMUNTU 7
ADAMU NE KAAWA BWEBAYONOONA

“...Ku bw’omuntu omu ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw’ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna....” –Abaruumi 5:12

Ekintu ky’okujukira

Buli muntu azaalibwa nekibi lumu alifa kubanga okufa kwajja ne kibi. (Soma Abaruumi 5:12 nate.)


ENTEKATEEKA YA KATONDA OKUTUNUNULA OKUVA MUKIBI 8
KYALI KUWEEREZA MWANAWE

Okuyingira mumbeera y’obuntu omwana wa katonda yalina okujjira mumubiri bw’o bwaana obuweere.

“Naye alizaala omwana wa bulenzi; naawe olimutuuma erinnya lye YESU; kubanga ye ye alirokola abantu be mu bibi byabwe.” –Matayo 1:21

“Kubanga [Kristo Yesu] mu oyo mwe mutuula okutuukirira kwonna okw’Obwakatonda ng’omubiri bwe guli.” –Abakkolosaayi 2:9


YESU KATONDA — MU BUNTU 9

“Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n’aba awali Katonda, Kigambo n’aba Katonda. Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeerako gye tuli.” –Yokaana 1:1, 14a

“Ebyo byonna byakolebwa, bituukirire mukama bye yayogerera mu nnabbi, ng’agamba nti ‘Laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, era alizaala omwana wa bulenzi, Balimutuuma erinnya lye Emmanweri;’ eritegeezebwa nti ‘Katonda ali naffe.’” –Matayo 1:22, 23

“Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow’obulenzi aweereddwa ffe; n’okufuga kunaabanga ku kibegabega kye: n’erinnya lye liriyitibwa nti Wa kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda ow’amaanyi, Kitaffe ataggwaawo, Omukulu ow’emirembe.” –Isaaya 9:6


YESU KRISTO — YE SSADDAKA YAFFE ETUKIRIDDE 10

“Ataamanya kibi.” –2 Abakkolinso 5:21a

“Ataakola kibi.” –1 Peetero 2:22a

Tewali ssaddaka yonna etukiridde omuntu gyayinza okukola emala okugyawo ebibi.

“Kubanga tekiyinzika omusaayi gw’ente ennume n’embuzi okuggyako ebibi.” –Abaebbulaniya 10:4

Yesu endiga ya katonda. “Laba, Omwana gw’endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by’ensi!”–Yokaana 1:29b


YESU YAWAAYO OBULAMU BWE OKUTULOKOLA 11,12

Yesu yakomererwa kumusalaba ogw’omuti abantu abakabwe bamukyawa. Naye okufa kwe yali ntekateeka ya Katonda. Mukusaalawo kwa Yesu kwe ye nawaayo obulamu bwe okulokola ggwe nange okuva mu bibi byaffe. Yesu yagamba, “Tewali abunziyako [obulanu bwange], naye nze nzekka mbuwaayo. Nnina obuyinza obw’okubuwaayo, era nnina obuyinza obw’okubutwala nate.”–Yokaana 10:18a

TWANUNULIBWA N’OMUSAAYI GWE NDIGA YA KATONDA

Nga mumanyi nga temwanunulibwa [obatetwagulibwa] na bintu ebiggwaawo, ffeeza oba zaabu,...wabula n’omusaayi ogw’omuwendo omungi, ng’ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko bulema newankubadde ebbala, ye Kristo.” –1 Peetero 1:18, 19

Tewali kiwebwaayo kirala kyonna ekiyinza okujjawo ekibi.
“By’ayagala twatukuzibwa olw’okuwaayo omubiri gwa Yesu Kristo omulundi ogumu.” –Abaebbulaniya 10:10b

“Kale okusinga ennyo kaakano bwe twaweebwa obutuukirivu olw’omusaayi gwe, tugenda kulokoka mu busungu ku bubwe.” –Abaruumi 5:9

“Nagamba nti Yesu, onjijuki-
ranga bw’olijjira mu bwakabaka bwo.” –Lukka 23:42

Ono omubi yakiiriza Yesu nalokole-bwa.

“Mazima nkugamba nti Leero onooba nange mu Lusuku lwa Katonda.”–Lukka 23:43b

Ono omubi teyakiiriza Yesu era teyalokoka.

“Kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n’atufiirira.”–Abaruumi 5:8b


BONNA ABAKIIRIZA OMWANA WA KATONDA BALINA OBULAMU 13

“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.”–Yokaana 3:16

“Eyatulokola mu buyinza obw’ekizikiza, n’atutwala mu bwakabaka obw’Omwana we omwagalwa; mwe tubeerera n’okununulwa,* kwe kusonyiyibwa kw’ebibi byaffe.” –Abakkolosaayi 1:13, 14
*Okununulwa kiteegeza nti twagulibwa nate.


“YAZUUKIRA!” 14

“Naye malayika n’addamu n’agamba abakazi nti Mmwe temutya: ‘kubanga mmanyi nga munoonya Yesu eyakomererwa. Tali wano; kubanga azuukidde, nga bwe yagamba. Mujje, mulabe ekifo Mukama we yagalamira.’”–Matayo 28:5, 6

 


YESU YAZUUKIRA OKUVA MUBAFU 15

“Era Omulamu; era nnali nfudde, era, laba, ndi mulamu emirembe n’emirembe, era nnina ebisumuluzo eby’okufa n’eby’Emagombe.” –Okubikkulirwa 1:18

“Kubanga nze ndi mulamu nammwe muliba balamu.”–Yokaana 14:19b

Kubanga Kristo yawangula okufa era alina ebisumuluzo bw’okufa. N’olwekyo tekitwetagisa kutya kufa.

“Buli lwe nnaatyanga, neesiganga ggwe.” –Zabbuli 56:3
(Laba kumuko 46 olw’ebisubisubizo bya Katonda.)

YESU ASOBOLA OKUKULOKOLA ERA N’OKUSABIRA
“Naye oyo, kubanga abeerera okutuusa emirembe gyonna, ...Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolerezanga.” –Abaebbulaniya 7:24, 25


GGWE NANGE TUYIINZA OKUFUNA OBULAMU OBUTAGWAAWO  16

OBULAMU OBUTAGWAAWO

Kkubo ki ly’otwala?

Yesu Kristo ly’ekkubo mubulamu obutagwaawo ne Katonda.

Setaani ly’ekkubo lyo kufa okwemirembe 
gyonna.

Omulenzi ono asazeewo ekitufu eri obulamu obutagwaawo.

OKUFA OKW’OLUBEERERA


KUSAALAWO KI KW’OLONZEWO? 17

“...Mulonde leero gye munaaweerezanga....”–Yoswa 24:15

“Weeroboze obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n’ezzadde lyo.” –Ekyamateeka Olw’okubiri 30:19b

YESU LY’EKKUBO LY’OBULAMU OBUTAGWAAWO

“So tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w’eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola.” –Ebikolwa By’Abatume 4:12

“Nze, nze mwene, nze Mukama; so tewali mulokozi wabula nze.” –Isaaya 43:11


LWAKI TUSAALAWO OKUTWALA YESU BWETUBA TWAGALA OBULAMU 18-21
OBUTAGWAAWO?

1. Kristo ye yajja.

“...Nze najja zibe n’obulamu....”–Yokaana 10:10

2. Kristo yeya twagala era naafa kulwaffe.

“Omwana wa Katonda eyanjagala nneeweeyo ku lwange.”–Abaggalatiya 2:20b

Yesu yafuuka omuntu, omubiri n’omusaayi nga ffe, “kufa alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi ag’okufa, ye Setaani; era alyoke abawe eddembe abo bonna abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw’entiisa y’okufa.” –Abaebbulaniya 2:14b, 15

3. Omusaayi gwa Yesu ggwoka gwegutujjako ebibi byafee.

“Kubanga omusaayi gwe gutangirira olw’obulamu.”–Eby’Abaleevi 17:11b
“N’omusaayi gwa Yesu Omwana we gutunaazaako ekibi kyonna.” –1 Yokaana 1:7b
“Mwe tubeerera n’okununulwa, kwe kusonyiyibwa kw’ebibi byaffe.” –Abakkolosaayi 1:14

4. A Kristo ye yekka eyazuukira mubafu.

“Bwe tumanyi nga Kristo yamala okuzuukizibwa mu bafu takyafa nate; okufa tekukyamufuga.”–Abaruumi 6:9

“Naye yafiirira bonna, abalamu balemenga okubeera abalamu nate ku bwabwe bokka, wabula ku bw’oyo eyabafiirira n’azuukira.”–2 Abakkolinso 5:15

Yesu yagamba, “Kubanga nze ndi mulamu nammwe muliba balamu.” –Yokaana 14:19b

5. Tutekwa okufuku omwoyo wa Kristo muffe tulyoke tuzukirire obulamu obutagwaawo 
(okubeerawo emirembe gyonna).

“Kristo mu mmwe, essuubi ery’ekitiibwa.”–Abakkolosaayi 1:27b

“Naye oba nga Omwoyo gw’oyo eyazuukiza Yesu mu bafu atuula mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu mu bafu, era n’emibiri gyammwe egifa aligifuula emiramu ku bw’Omwoyo gwe atuula mu mmwe.” –Abaruumi 8:11

KAKASA NTI OMWOYO WA KRISTO ABEERA MUGGWE

“Naye omuntu bw’ataba na Mwoyo gwa Kristo, oyo si wuwe [ssi wa Kristo].” –Abaruumi 8:9b


YESU AYAGALA ABAANA BONNA  22,23

N’abawambaatira, n’abawa omukisa, ng’abassaako emikono.
–Makko 10:16

Yesu anjagala kino nkimanyi kubanga bayibuli ekingamba.

Era n’omwana omuto yeemanyisa olw’ebikolwa bye.
–Engero 20:11a

“Naye Yesu n’abayita ng’agamba nti Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana: kubanga abali ng’abo obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe.”–Lukka 18:16

“Bwe kityo tekyagalibwa mu maaso ga Kitammwe ali mu ggulu, omu ku abo abato bano okuzikirira.”–Matayo 18:14

Sinsonga gwe anni oba obeera wa Yesu akwagala nawe. Oyinza okulaga okwagala kwo kulwa Yesu nga tumugondera.

“Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange.” –Yokaana 14:15


ENGERI Y’OKUZULAMU EKKUBO LY’OKUTUUKA EWA KATONDA 24
 
1. Kkiriza nti oli mwonoonyi (era wajeemera Katonda).

“Kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda.” –Abaruumi 3:23

2. Jjangu eri Katonda okuyita mu Kristo.

Kubanga waliwo Katonda omu, era omutabaganya wa Katonda n’abantu omu, omuntu Kristo Yesu.”–1 Timoseewo 2:5

“Era kyava [Yesu] ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe.” Abaebbulaniya 7:25a

Yesu yagamba, “Ajja gye ndi sirimugobera bweru n’akatono.” –Yokaana 6:37b

3. Wenenye ebibi byo.
(Okwenenya kitegeza okukikyawa n’okukivirako ddala.)

“Kale mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulibwe.”–Ebikolwa By’Abatume 3:19a

“Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng’abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya.” –2 Peetero 3:9

4. Yatula ebibi byo yatula ebibi byo eri Yesu.
(Okwatula kitegeeza nti kwekukyogera.)

“Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazi ma era omu tuuki rivu okutuso nyiwa ebibi byaffe.”–1 Yokaana 1:9a

Kumisittale wansi wandiika enyiriri. 1 Yokaana 1:9 

bye-wasaanze mu mukono ogusaba kumuko 25.

____________________________________________
____________________________________________
____________________________________________
____________________________________________

5. Wegaanire ddala ebibi byo.
(Okwegaana kitegeeza okukivirako ddala.)

“Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: naye buli akwatula n’akuleka alifuna okusaasirwa.”–Engero 28:13

“Ovenga mu bubi, okolenga obulungi.” –Zabuli 37:27

6. Kkiriza Yesu 27 Kristo.

“Bw’oyatula Yesu nga ye Mukama n’akamwa ko, n’okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka.”–Abaruumi 10:9b

“Kkiriza Mukama waffe Yesu, onoolokoka ggwe n’ennyumba yo.”–Ebikolwa By’Abatume 6:31b

“Kubanga mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza;... kye kirabo kya Katonda: tekwava mu bikolwa, omuntu yenna aleme okwenyumirizanga.” Abaefeso 2:8, 9

7. Kkiriza Yesu Kristo mu mutima gwo ne mubulamu.

Ky’olina okukola kyokka kwekuguulawo olugi lw’omutima gwo era okkukize Yesu oyingire, “Laba, nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula: omuntu yenna bw’awulira eddoboozi lyange, n’aggulawo oluggi, nnaayingira gy’ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange.”–Okubikkulirwa 3:20

“Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye. –Yokaana 1:12


ENDAGIRIRO Y’OKUSABA 29


Bwoba nga togezaangako kusaba wetaga okuyambibwa mukusaba oyiinza okugoberera okusaba nge ndagiriro eyo wansi:

Owomukwano mukama Yesu,

Webale olw’okufa kumusaalaba okutwala ebibi byange. Nsonyiwa olwe byo byonna ebikyamu byenakola. Nkusaba n’obuwombefu ojje mu mutima era obere mu mutima gwange emirembe gwonna kwesigira ddala okuba omulokozi wange era mukama.
Mulinya lya Yesu, Amina.


WAMU NE YESU MU MUTIMA GWO OLINA  30
OBULAMU OBUTAGWAWO (OBW’OLUBERERA)


“Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu Mwana we. Alina Omwana alina obulamu.”
–1 Yokanna 5:11b, 12a

“Ddala ddala mbagamba nti Awulira ekigambo kyange, n’akkiriza oyo eyantuma,...naye ng’avudde mu kufa okutuuka mu bulamu.” –Yokanna 5:24

Omubiri guno bwegufa kwe kubela wamu ne mukama (2 Abakkolinso 5:8). “Kristo mu mmwe, essuubi ery’ekitiibwa.”–Abakkolosaayi 1:27b

Bwomala okusaba Yesu okusonyiwa ebibi byo. Era n’okkiriza mukama Yesu Kristo okuba omulokozi wo wandiika erinya lyo wansi:


ENGERI YOKUSIGALA NGA 31


Soma engiriri mu Baibuli (Ekigambo kya Katonda) buli lunaku era ozitereke mu mutima gwo ziddingane ezo ezenjawulo ezikuyamba. (Nyingi ziri mukatabo kano akatono.)


“Buli ekyawandiikibwa kirina okuluamya kwa Katonda,
era kigasa olw’okuyigirizanga, [ky’okkiriza,] olw’okunenyanga, 
olw’okutereezanga, olw’okubuulira okuli mu butuukirivu.”
–2 Timoseewo 3:16


YOGERE NE YESU MU KUSABA BULI KISEERA 32

Webaze Yesu olw’ebirungi mu bulamu bwo. Mutendereze olwebyo bya kukoledde n’olwokulokola emmeme yo. Sabira buli kyetaago kyo ky’olina. Saba mu linya lya Yesu.

“Bwe tusaba ekintu nga bw’ayagala, atuwulira.” –1 Yokanna 5:14b

“...Musabiraganenga....” –Yakobo 5:16

“Musabirenga ababayigganya.”–Matayo 5:44b


OKUSABA YESU KWEYAYIGIRIZA ABATUME BE 33
(Omutume ye muntu agoberera Yesu.)

Yesu yagamba abatume be okusaba mungeri eno:
“Kale, musabenga bwe muti, nti Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu. Otuwe leero emmere yaffe eya leero. Otusonyiwe amabanja gaffe, nga naffe bwe tusonyiye abatwewolako. Totutwala mu kukemebwa, naye otulokole eri omubi. Kubanga obwakabaka, n’obuyinza, n’ekitiibwa, bibyo, emirembe n’emirembe, Amiina.” –Matayo 6:9-13

Okusaba kuno kutekwa okudinganibwa. Omukkiriza buli kaseera saba mulwatu.


A MATEEKA EKUMI GA KATONDA GATUYIGIRIZA ENGERI Y’OKUBA ABALAMU 34,35
(Essula 20 Okuva )

Ana agasooka gakwata kukwagala kwaffe eri Katonda
1. “Tobanga na bakatonda balala we ndi.”
2. “Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky’ekintu kyonna kyonna,...tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga....”
3. “Tolayiriranga bwereere erinnya lya Mukama Katonda wo....”
4. “Jjukira olunaku olwa ssabbiiti, okulutukuzanga.”

Omukaga agasembayo bakwata ku kwagala kwaffe eri 
omuntu

AMATEEKA 10 (GEYONGEYORAYO)

5. “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa....”
6. “Tottanga.”
7. “Toyendanga” (Obukaba bwebutali bwesigwa bw’omu kubafumbo omukyala oba mwami, okwetaba n’omulala atali wuwe.)
8. “Tobbanga.”
9. “Towaayirizanga muntu munno.”
10.“Teweegombanga ennyumba ya muntu munno,...ne wakubadde buli kintu ekya muntu munno.”

OKUGONDERA KATONDA KULEETA
OKUDIBWAMU OKUSABA KWO


“Era buli kye tusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye era tukola ebisiimibwa mu maaso ge.” –1 Yokaana 3:22


AMATEEKA ABIRI AMAKULU 36

Yagala Katonda

1. “Naye n’amugamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna. Kino kye kiragiro ekikulu eky’olubereberye.”–Matayo 22:37, 38

Yagala muntu munno

2. “N’eky’okubiri ekikifaanana kye kino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” –Matayo 22:39

Amateeka ekumi mumpapula (34 ne 35) 
gonna gasibidwa mwago abiiri amakulu.

KWAGALA


OKWAGALA KWEKUKULU MU GONNA 37,38
“Essula Ey’okwagala Enkulu”
(1 Abakkolinso 13:1-8, 13)

1Bwe njogera n’ennimi z’abantu n’eza bamalayika, naye ne ssiba na kwagala, nga nfuuse ekikomo ekivuga n’ebitaasa ebisaala. 2Era bwe mba ne bunnabbi ne ntegeera ebyama byonna n’okutegeera kwonna; era bwe mba n’okukkiriza kwonna, n’okuggyawo ne nziyawo ensozi; naye ne ssiba na kwagala, nga ssiri kintu. 3Era bwe ngabira abaavu bye nnina byonna okubaliisanga, era bwe mpaayo omubiri gwange okwokebwa, naye ne ssiba na kwagala, nga ssiriiko kye ngasizza. 4Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza, 5tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo; 6tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n’amazima; 7kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriza byonna. 8Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna: naye oba bunnabbi, bulivaawo; oba ennimi, zirikoma; oba okutegeera, kulivaawo.

13Naye kaakano waliwo okukkiriza, okusuubira, okwagala, ebyo byonsatule; naye ku ebyo ekisinga obukulu kwagala.

KATONDA KWAGALA


“Katonda kwagala; n’oyo abeera mu kwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye.” –1 Yokaana 4:16b


YESU AYAGALA OWE OBUJULIZI 39
ERI ABALALA


(awaka, kusomero, kukanisa, nawalala wonna)

Yesu yagamba, “Genda eka mu babo, obabuulire bwe biri ebikulu Katonda by’akukoledde, ne bw’akusaasidde.”–Makko 5:19b

 


ENGERI Y’OKUMYAMU OMWANA OMUTUFU OWA KATONDA 40,41

“Kale mulibategeerera ku bibala byabwe.” –Matayo 7:20

“Naye ebibala by’Omwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza.” –Abaggalatiya 5:22, 23a

OMWANA OMUTUFU OWA KATONDA ASONYIWA ABALALA

“Kubanga bwe munaasonyiwanga abantu ebyonoono byabwe, Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga nammwe.”–Matayo 6:14

EBINTU 7 KATONDA BYAKYAAWA

“Amaaso ag’amalala, olulimi olulimba, n’engalo eziyiwa omusaayi ogutaliiko musango; omutima oguyunja ebirowoozo ebibi, ebigere ebyanguwa embiro okugoberera ettima; omujulirwa w’obulimba ayogera eby’obulimba, n’oyo asiga okukyawagana mu b’oluganda.” –Engero 6:17-19

EBIKOLWA BY’OMUBIRI: 

“...Obwenzi, empitambi, obukaba [okwegatta natali mufumbo], okusinza ebifaananyi, okuloga, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka,...ettima, obutamiivu,...n’ebiri ng’ebyo:...bali abakola ebiri ng’ebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.” –Abaggalatiya 5:19-21

“...Abalya ebisiyaga, newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi....” –1 Abakkolinso 6:9, 10

LEEKA YESU AKUJJUZE N’OMWOYOWE ERA AKUFUULE OMULUNGI

“Era abamu ku mmwe mwali ng’abo: naye mwanaazibwa, naye mwatukuzibwa,...olw’erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, n’olw’Omwoyo gwa Katonda waffe.” –1 Abakkolinso 6:11


GEYEENA KIFO GYEKIRI DDALA 42

(Soma mu Luuka 16:19-26.)
Kakasa nga wesiiga Yesu Kristo. Ajja kuteeka eriinya lyo mu kitabo ky’obulamu.

“Era omuntu yenna ataalabika ng’awandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu, n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro.”–Okubikkulirwa 20:15


AYAMBA!


YESU LYE KUBO LYOKKA ERIKUTUSA EWA KATONDA 43

“Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu Mwana we.” –1 Yokaana 5:11b

“Kubanga empeera y’ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe.” –Abaruumi 6:23

“Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye.” –Yokaana 3:36

“Yesu n’amugamba nti Nze kkubo, n’amazima n’obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng’ayita mu nze.”–Yokaana 14:6


EGGULU KIFO GYEKIRI DDALA 44

 

Mu kubikkulilwa Yokaana 21 yalaba eggulu erijya n’ensi empya.

“‘Naye alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.’ N’oyo atuula ku ntebe n’ayogera nti ‘Laba, byonna mbizzizza buggya.’”–Okubikkulirwa 21:4, 5a

Era Yokaana yalaba ekibuga ekituukuvu, n’ekibuga ekijjya, nga kikka wansi okuva ewa Katonda muggulu. “N’ekibuga kya zaabu ennungi, ng’endabirwamu ennungi. Emisingi gya bbugwe w’ekibuga gyayonjebwa na buli jjinja ery’omuwendo omungi.” –Okubikkulirwa 21:18b, 19a


YESU YAGENDA OKUTEKATEEKA 45

“Omutima gwammwe tegweraliikiriranga: mukkirize 
Katonda, era nange munzikirize. Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby’okubeeramu. Singa tekiri bwe kityo, nandibagambye; kubanga enda okubateekerateekera 
ekifo. Era oba nga enda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo.” –Yokaana 14:1-3

TEGEEZA AMAWULIRE AMALUNGI GANNO ERI ABALALA

Yesu yagamba, “Nti Mugende mu nsi zonna, mubuulire enjiri eri ebitonde byonna.” –Makko 16:15b

“N’oyo alina amagezi afuna emmeeme z’abantu.”–Engero 11:30b


EBISUBIZO BYA KATONDA ERI ABAANABE 46

“Sirikuleka n’akatono, so sirikwabulira n’akatono.”–Abaebbulaniya 13:5b

“Kubanga alikulagiririza bamalayika be, bakukuume mu makubo go gonna.” –Zabbuli 91:11

“So tewali ayinza okuzisikula mu mukono gwa Kitange.” –Yokaana 10:29b

“...Nze ndi wamu nammwe ennaku zonna....” –Matayo 28:20

“Totya by’ogenda okubonaabona....Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey’obulamu.”–Okubikkulirwa 2:10

“...Mpita, nange naakuyitaba....”–Yeremiya 33:3


YESU AKOMAWO NATE 47
Buli muntu yenna alizuukizibwa okuva mubafu.

“Kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye, ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n’abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.” –Yokaana 5:28b, 29

Abafu abafiira mu Kristo bebalisooka okuzuukira.

“Naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga: kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.” –1 Abasessaloniika 4:17

“Mutunulenga, musabenga: kubanga temumanyi biro we birituukira.” –Makko 13:33b


YESU ALIJJA ATYA? 48

“Laba, ajja n’ebire; era buli liiso lirimulaba.” –Okubikkulirwa 1:7a

Wekume ba kristo abobulimba ne bannabbi bobulimba.
“Omuntu bw’abagambanga nti Laba, Kristo ali wano, oba nti Wano; temukkirizanga. Bwe babagambanga nti Laba, ali mu ddungu; temufulumanga: laba, ali mu bisenge munda; temukkirizanga.” –Matayo 24:23b, 26b

YESU ALIJJA MANGU DDALA MUBIRE EBY’OMUGGULU
“Kubanga ng’okumyansa bwe kuva ebuvanjuba, ne kulabikira ebugwanjuba; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw’Omwana w’omuntu. N’ebika byonna eby’ensi...biriraba Omwana w’omuntu ng’ajja ku bire eby’eggulu n’amaanyi n’ekitiibwa ekinene.” –Matayo 24:27, 30b


ZABBULI Y’OMUSUMBA

1Mukama ye musumba wange; seetaagenga. 2Angalamiza mu ddundiro ery’omuddo omuto: Antwala ku mabbali ag’amazzi amateefu. 3Akomyawo emmeeme yange: Annuamya mu makubo ag’obutuukirivu ku lw’erinnya lye.
4Era newakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, Siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange: Oluga lwo n’omuggo gwo bye binsanyusa. 5Onteekerateekera emmeeza mu maaso g’abalabe bange: Onsiize amafuta ku mutwe; ekikompe kyange kiyiwa.
6Obulungi n’ekisa tebiiremenga kugenda nange ennaku zonna ez’obulamu bwange: Nange naatuulanga mu nnyumba ya Mukama okutuusa ku nnaku nnyingi.


Kabwerere –Tekatundibwa

If you are interested in receiving additional Scripture booklets, write to the publisher in English at the address below or order online:

World Missionary Press, Inc. 
P.O. Box 120 
New Paris, Indiana 46553-0120 U.S.A.


World Missionary Press Home Page | Go to the Top of This Page

Hit Counter